Eddoboozi

Okugaba mu kkanisa

Eby’omumirembe/1 Chronicles 29: 1-10

Mu nsi yonna, okuva edda lyona, government zisolooza omusolo ku bantu baazo.
Okusolooza omusolo ogwo kiba kiraga nti omuntu oyo government eyo
emulinako obuyinza.
Kakati naffe ng’abantu Katonda atusolooza, era mukukiriza okumuwa omusolo
tuba tukiriza nti: “ye Ssebo tukiriza obufuzi bwo”. Tuba tukiriza nti Katonda gwe otufuga.
Eddini bwe yali nga y’akajja e Uganda, Church of England yafuba nyo
okuyigiriza ba nansi mu Uganda okutwaala ku buvinanyizibwa ku Kanisa yaabwe.